2 Peter 1:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'ekyo neetegese okubajjukizanga ebyo bulijjo, newandibadde nga mubimanyi, n'okunywera munyweredde ku mazima ge mulina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo, ebyo nzija kubibajjukizanga buli kiseera, newaakubadde nga mubimanyi, era nga ddala munyweredde mu mazima ge mwategeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyenaavanga njagala ennaku zonna okubajjukiza ebyo newakubadde nga mubimanyi ne munywerera mu mazima ge mulina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo, ebyo njija kubibajjukizanga bulijjo, newaakubadde nga mubimanyi, era nga munyweredde mu mazima ge mwafuna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyennaavanga njagala ennaku zonna okubajjukiza ebyo newakubadde nga mubimanyi ne munywerera mu mazima ge mulina.