2 Peter 1:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
anti mmanyi ng'obw'okwabulira akasiisira kange bunaatera okutuuka nga Mukama waffe Yezu Kristu bwe yakindaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga mmanyi nga nnaatera okuva mu mubiri guno, nga Mukama waffe Yesu Kristo bwe yantegeeza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga mmanyi nga nnaatera okuva mu mubiri guno, era nga Mukama waffe Yesu Kristo bwe yantegeeza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga mmanyi nga nnaatera okweyambula omubiri guno, nga Mukama waffe Yesu bwe yantegeeza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga mmanyi nga nditera, okwambula amangu ensiisira yange, era nga Mukama waffe Yesu Kristo bwe yantegeeza.