2 Peter 1:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti bwe twabamanyisa amaanyi ga Mukama waffe Yezu Kristu n'okujja kwe, tetwagoberera nfumo njiyirize, anti ffe ffennyini twalabira ddala ekitiibwa kye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga tetwagoberera ngero bugero ezaagunjibwa wabula twabategeeza ebyo bye twalabirako ddala, eby’amaanyi n’okukomawo kwa Mukama waffe Yesu Kristo, era n’obukulu bwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga tetwagoberera ngero ezaagunjibwa n'amagezi bwe twabategeeza obuyinza n'okujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo, naye twalaba n'amaaso gaffe obukulu bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe twabategeeza obuyinza bwa Mukama waffe Yesu Kristo n'okujja kwe, tetwayogera ngero ezaayiiyizibwa, wabula ekitiibwa kye twakirabirako ddala n'amaaso gaffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga tetwagoberera ngero ezaagunjibwa n'amagezi bwe twabategeeza obuyinza n'okujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo, naye twalaba n'amaaso gaffe obukulu bwe.