2 Peter 1:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti bwe yafuna ettendo n'ekitiibwa okuva ewa Katonda Taata, yawulira eddoboozi eryamujjira nga liva ew'Ekitiibwa Ekitenkanika nga limugamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe neesiimiramu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Katonda Kitaffe yamuwa ekitiibwa n’ettendo, eddoboozi bwe lyawulikika okuva mu ggulu mu kitiibwa ekingi ekimasamasa nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga yaweebwa Katonda Kitaffe ettendo n'ekitiibwa, eddoboozi bwe lyava mu kitiibwa ekimasamasa ne lijja gy'ali bwe liti nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa, gwe nsanyukira ennyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Twaliwo nga Katonda Kitaffe amuwa ekitiibwa n'ettendo, eddoboozi bwe lyava mu Kitiibwa Ekinene, ne limwogerako nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa, era gwe nsiimira ddala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga yaweebwa Katonda Kitaffe ettendo n'ekitiibwa, eddoboozi bwe lyava mu kitiibwa ekimasamasa ne lijja gy'ali bwe liti nti Ono ye Mwana wange omwagalwa, gwe nsanyukira ennyo: