2 Peter 1:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati tulina ekigambo abalanzi kye baagamba ekyongedde okukakasibwa. Munaaba mukoze bulungi okukifaako, ne kiba ng'omumuli ogwakira mu kizikiza okutuusa obudde lwe bunaakya emmunyeenye ey'oku makya n'evaayo mu mitima gyammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyetuvudde tweyongera okukakasa ebyo bannabbi bye baategeeza, era bwe munaabigonderanga munaabanga mukoze bulungi. Kubanga biri ng’ettaala eyaka mu kizikiza okutuusa obudde lwe bukya, emunyeenye ey’enkya n’eryoka eyaka mu mitima gyammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ekisinga obunywevu tulina ekigambo kya bannabbi; mukola bulungi okukiraba ekyo, ng'ettabaaza eyakira mu kifo eky'ekizikiza, okutuusa obudde bwe bulikya emmunyeenye ekeesa obudde n'eyaka mu mitima gyammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo tweyongedde okufuna obukakafu ku ebyo abalanzi bye baayogera. Musaanidde okubissaako omwoyo, kubanga biri ng'ettaala eyakira mu kifo eky'ekizikiza, okutuusa obudde lwe bulikya, emmunyeenye ey'oku makya n'eyaka mu mitima gyammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ekisinga obunywevu tulina ekigambo kya bannabbi; mukola bulungi okukiraba ekyo, ng'ettabaaza eyakira mu kifo eky'ekizikiza, okutuusa obudde bwe bulikya emmunyeenye ekeesa obudde n'eyaka mu mitima gyammwe: