2 Peter 1:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eneema ebeere nammwe n'emirembe gyeyongere obungi nga bwe mweyongera mu kumanya Katonda ne Yezu Mukama waffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ekisa n’emirembe byeyongerenga mu mmwe nga mutegeera Katonda ne Yesu Mukama waffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ekisa n'emirembe byeyongerenga gye muli mu kutegeerera ddala Katonda ne Yesu Mukama waffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda ayongere okubakwatirwa mmwe ekisa era n'okubawa emirembe, nga mweyongera okumumanya era n'okumanya Yesu Mukama waffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ekisa n'emirembe byeyongerenga gye muli mu kutegeerera ddala Katonda ne Yesu Mukama waffe;