2 Peter 1:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kusookera ddala, mwenna mutegeere nga tewali na kimu ekyalangwa mu Biwandiiko ebitukuvu omuntu ky'amala gannyonnyola nga bw'ayagala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okusooka mukimanye nga buli bunnabbi obuli mu byawandiikibwa, tewali ayinza kubunnyonnyola ku bubwe yekka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okusookera ddala mutegeere kino, nti buli kigambo ekya bannabbi ekyawandiikibwa tekyajja nga kisinziira ku kunnyonnyola kwa nnabbi oyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okusookera ddala, mutegeere kino nti buli kigambo ky'abalanzi ekyawandiikibwa, tewali ayinza kukinnyonnyola ku bubwe yekka,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga mumaze okutegeera kino, nti buli kigambo ekya bannabbi ekyawandiikibwa tekitegeeza kukoma kw'oyo yekka.