2 Peter 1:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti tewabanga kirangwa kyava mu bantu ku bwabwe, wabula abantu ba Katonda abatuukirivu baayogeranga nga Mwoyo Mutuukirivu y'abasindise.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bannabbi tebaayogeranga byabwe ku bwabwe, wabula baategeezanga ebyo Katonda bye yabalagiranga nga Mwoyo Mutukuvu bwe yabibawanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga tewali kigambo kya bunnabbi ekyali kireeteddwa mu kwagala kw'abantu, naye abantu baayogeranga ebyavanga eri Katonda, nga bakwatiddwa Omwoyo Omutukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga tewali mulanzi yali alanze nga yeeyagalidde, wabula abalanzi baayogeranga ebiva eri Katonda, nga Mwoyo Mutuukirivu ye aboogeza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga siwali kigambo kya bannabbi ekyali kireeteddwa mu kwagala kw'abantu: naye abantu baayogeranga ebyava eri Katonda, nga bakwatiddwa Omwoyo Omutukuvu.