2 Peter 1:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amaanyi g'obwakatonda bwe gaatuwa byonna bye twetaaga mu bulamu ne mu kubeera abasomi, nga tumanyisibwa oyo eyatuyita mu kitiibwa kye kyennyini ne mu butuukirivu bwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga mu maanyi g’obwakatonda bwe, mwe twaweerwa ebintu byonna olw’obulamu buno n’okutya Katonda mu kumanya oyo eyatuyita olw’ekitiibwa kye n’obulungi bwe ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga obuyinza bw'obwakatonda bwe bwatuwa byonna eby'obulamu n'eby'okutya Katonda, olw'okutegeerera ddala oyo eyatuyita olw'ekitiibwa n'obulungi bwe ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama waffe oyo, mu buyinza bwe nga Katonda, yatuwa byonna bye twetaaga mu bulamu ne mu kumuweereza, nga tumanyi oyo eyatuyita okugabana ku kitiibwa kye ne ku bulungi bwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga obuyinza bw'obwakatonda bwe bwatuwa byonna eby'obulamu n'eby'okutya Katonda, olw'okutegeerera ddala oyo eyatuyita olw'ekitiibwa n'obulungi bwe ye;