2 Peter 1:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mwe yatuweera ebisuubizo eby'ettendo era ebikulu. Olw'ebyo musobole okuwona obwonoonefu obuli mu nsi olw'amaddu, mugabane ku bwakatonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyo bye byatuweesa ebisuubizo eby’omuwendo ebikulu, mu byo mulyoke mugabanire awamu obuzaaliranwa bw’obwakatonda, muwone okuzikirira okuva mu kwegomba okubi okw’omu nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu byo mweyatuweera ebisuubizo ebinene era eby'omuwendo omungi ennyo; olw'ebyo mulyoke muwone okuzikirira okuli mu nsi okuleetebwa okwegomba okubi, mulyoke mugabane ku bwa Katonda bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu byo mwe yatuweera ebirabo ebinene era eby'omuwendo ennyo bye yatusuubiza, olw'ebirabo ebyo, muwone okuzikirira okuli mu nsi, okuleetebwa okwegomba okubi, mulyoke mugabane ku bwakatonda bwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ebyatuweesa ebisuubizibwa eby'omuwendo omungi ebinene ennyo; olw'ebyo mulyoke mugabanire awamu obuzaaliranwa bwa Katonda, bwe mwawona okuva mu kuzikirira okuli mu nsi olw'okwegomba.