2 Peter 1:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'ensonga eyo mufube ku kukkiriza kwammwe mwongereko empisa ennungi, ku mpisa ennungi mwongereko okumanya,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo mufubenga nnyo, okukkiriza kwammwe mukwongereko obulungi, ne ku bulungi mwongereko okutegeera,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'ensonga eno mufube okulaba nga, ku kukkiriza kwammwe mwongerako obulungi, era ne ku bulungi bwammwe mwongerako okutegeera;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale musseeyo nnyo omwoyo, ku kukkiriza kwammwe mwongereko ebikolwa ebirungi, ku bikolwa ebirungi mwongereko okumanya,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye era olw'ekyo kyennyini bwe muleeta ku lwammwe okufuba kwonna, ku kukkiriza kwammwe mwongerengako obulungi, era ne ku bulungi bwammwe okutegeera;