2 Peter 1:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ku busomi mwongereko okuyisaŋŋanya ng'ab'oluganda, ku kuyisaŋŋanya ng'ab'oluganda mwongereko okwagala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne ku kutya Katonda mwongereko okufaayo ku booluganda abalala bonna ne ku kufaayo ku booluganda bonna abalala mwongereko okwagalananga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era ne ku kutya kwammwe Katonda mwongerako okwagala ab'oluganda; era ne ku kwagala ab'oluganda kwammwe mwongerako okwagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ku kussaamu Katonda ekitiibwa mwongereko okwagalana ng'abooluganda, ku kwagalana ng'abooluganda mwongereko okwagala abantu bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ne ku kutya Katonda kwammwe okwagala ab'oluganda; era ne ku kwagala ab'oluganda kwammwe okwagala.