2 Peter 1:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebyo byonna bwe munaaba mubifunidde ddala mu bungi, bijja kubawonya, okumanya kwe mumanyiimu Mukama waffe Yezu Kristu ne kutaba kwa busa oba obutabala bibala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bwe muba n’ebyo ne byeyongera obungi, bibafuula ba mugaso era ababala ebibala olw’okutegeera Mukama waffe Yesu Kristo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bwe muba n'ebyo ne biba ebingi, bibafuula abatali bagayaavu n'ababala ebibala olw'okutegeerera ddala Mukama waffe Yesu Kristo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bwe muba nabyo ne byeyongera obungi, biribafuula ba mugaso, era abakola ebikolwa ebirungi mu kumanya Mukama waffe Yesu Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bwe muba n'ebyo ne biba ebingi, bibafuula abatali bagayaavu n'ababala ebibala olw'okutegeerera ddala Mukama waffe Yesu Kristo.