2 Peter 2:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abalanzi ab'obulimba ne mu ggwanga baalingamu; ne mu mmwe mujja kubeerangamu abayigiriza ab'obulimba, abalireetamu endowooza ez'akabi, ne beegaana ne Nnyinibuyinza eyabagula, ne beereetera okuzikirira okw'amangu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye waaliwo ne bannabbi ab’obulimba mu bantu, era nga bwe walibaawo abayigiriza ab’obulimba mu mmwe. Baliyingiza mu nkiso enjigiriza enkyamu etwala abantu mu kuzikirira. Balyegaana ne Mukama waffe, ne beereetako okuzikirira okw’amangu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye era ne wabaawo ne bannabbi ab'obulimba mu ggwanga, era nga ne mu mmwe bwe waliba abayigiriza ab'obulimba, abaliyingiza mu nkiso obukyamu obuzikiriza, era nga beegaana ne Mukama waabwe eyabagula, nga beereetera okuzikirira okw'amangu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga bwe waaliwo abalanzi ab'obulimba mu bantu ba Katonda, ne mu mmwe bwe walibaawo abayigiriza ab'obulimba. Balireeta mu nkiso okuyigiriza okukyamu okuzikiriza. Era balyegaana Mukama waabwe eyabanunula, ne beereetera okuzikirizibwa amangu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye era ne wabaawo ne bannabbi b'obulimba mu ggwanga, era nga ne mu mmwe bwe waliba abayigiriza b'obulimba, abaliyingiza mu nkiso obukyamu obuzikiriza, era nga beegaana ne Mukama waabwe eyabagula, nga beereetera okuzikirira okwangu.