2 Peter 2:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naddala abo abagoberera amaddu g'omubiri agoonoona, era abatassa kitiibwa mu bakama baabwe. Abantu abo ba lunkulu, abatalina gwe bassaamu kitiibwa, tebatya na kuvuma bali ab'ekitiibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’okusingira ddala abo abagoberera okwegomba kwabwe okw’omubiri ne banyooma abakulembeze baabwe. Tebaliiko kye batya, beerowoozaako bokka, era tebakwatibwa na nsonyi kuvuma baakitiibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye okusinga bonna abatambula okugoberera omubiri mu kwegomba okw'obugwagwa ne banyooma okufugibwa. Abatatya, abakakanyavu, tebatya kuvuma ba kitiibwa,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
naddala abo abagoberera okwegomba okubi okw'omubiri ne banyooma okufugibwa Katonda. Abayigiriza ab'obulimba abo tebaliiko kye batya. Beefaako bokka, tebakwatibwa nsonyi kuvuma baakitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye okusinga bonna abatambula okugoberera omubiri mu kwegomba okw'obugwagwa ne banyooma okufugibwa. Abatatya, abakakanyavu, tebakankana kuvuma ba kitiibwa: