2 Peter 2:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bamalayika basinga mu maanyi n'obuyinza, sso bo tebabawawaabira yadde okubavunaana ekigambo mu maaso g'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka bo bamalayika newaakubadde be basinga abayigiriza abo amaanyi n’obuyinza, bwe batwala ensonga ezo eri Mukama waffe tebakozesa lulimi luvuma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye bamalayika, newakubadde nga be basinga amaanyi n'obuyinza, tebabaleetako musango gwa buvumi eri Mukama waffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sso newaakubadde nga bamalayika be basinga abantu bano amaanyi n'obuyinza, tebabawawaabira mu maaso ga Mukama nga babavuma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye bamalayika, newakubadde nga be basinga amaanyi n'obuyinza, tebabaleetako musango gwa buvumi eri Mukama waffe.