2 Peter 2:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bano nno abamala gavuma ne buli kye batategeera ng'ensolo omutali magezi, bitondetonde bityo, abaazaalirwa okukwatibwa battibwe; balizikirira wamu nabyo nga bizikirira,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bali bavuma ne bye batategeera, bali ng’ensolo obusolo ezitaliimu magezi ezikwatibwa okuttibwa ne zizikirizibwa; era nabo okufaanana ng’ensolo ezo, bagenda kuzikirizibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abo, baliba ng'ensolo ezitalina magezi ezizaalibwa ensolo obusolo ez'okukwatibwanga n'okuzikirizibwanga, abavuma mu bigambo bye batategeera, balizikirizibwa mu kuzikirira kwe kumu ng'ensolo ezo,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bano bali ng'ensolo obusolo ezitalina magezi, ezizaalibwa okukwatibwa zittibwe. Bavuma ebintu bye batategeera. Nabo balizikirizibwa ng'ensolo ezo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abo, ng'ensolo ezitaliaa magezi ezizaalibwa ensolo obusolo ez'okukwatibwanga n'okuzikirizibwanga, abavuma mu bigambo bye batategeera, mu kuzikirira kwabwe tebalirema kuzikirizibwa,