2 Peter 2:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bagwe mu kabi nga ye mpeera y'akabi ke bakola. Bo bakiyita ssanyu okubinuka emisana; mabala mabi, ebizigiro; ne bwe babeera nga balya nammwe, baba mu kubinuka mu bulimba bwabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu abo bagenda kubonerezebwa olw’ebibi bye bakola. Kubanga buli lunaku bagoberera okwegomba kwabwe olw’okwesanyusa, era abantu abo bakwasa mmwe ensonyi era babaswaza bwe beegatta nammwe mu mbaga zammwe, nga bakola effujjo mu masanyu gaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga babonaabona olw'okwonoona kwabwe. Balowooza ebinyumu by'emisana nga lye ssanyu lyabwe. Balina amabala n'obwonoonefu, abatiguka mu mbaga zaabwe ez'okwagalana nga balya embaga awamu nammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
baboneebone, nga ye mpeera y'ebibi byabwe. Essanyu lyabwe, kwe kumala olunaku lwonna mu bisanyusa emibiri gyabwe. Be bantu abakwasa ensonyi, era abaswaza, bwe beegatta mu mmwe okulya, sso nga batiguka mu masanyu gaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga boonoonebwa, ye mpeera ey'okwonoona; abalowooza ebinyumu by'emisana nga ssanyu, mabala n'obwonoonefu, abatiguka mu mbaga zaabwe ez'okwagalana nga balya embaga awamu nammwe: