2 Peter 2:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balina amaaso agajjudde obukaba; ekibi tebakikkuta; baseemyaseemya ab'emyoyo egitali minywevu. Emitima gyabwe gyakuguka mu kuluvuwala. Bantu bakolimire.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balina amaaso agajjude obukaba, tebalekaayo kukola kibi buli kiseera boonoona era basendasenda abatali banywevu, bajjudde omululu. Baana abaakolimirwa,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balina amaaso agajjudde obwenzi, agataleka kwonoona; nga basendasenda emyoyo egitali minywevu; nga balina omutima ogwamanyiira okwegomba; abaana ab'okukolimirwa!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amaaso gaabwe gajjudde obwenzi. Tebakkuta kibi. Basendasenda abantu abatali banywevu. Emitima gyabwe gijjudde omululu. Ba kuzikirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga balina amaaso agajjudde obwenzi, agataleka kwonoona; nga basendasenda emyoyo egitali minywevu; nga balina omutima ogwamanyiira okwegomba; abaana ab'okukolimirwa;