2 Peter 2:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baleka ekkubo eggolokofu ne bawaba. Bakutte ekkubo lya Balaamu mutabani wa Bewori eyayagala okufuna ng'akola ebibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abaakyama ne bava mu kkubo okufaanana nga Balamu mutabani wa Beyoli, eyayagala empeera ey’obutali butuukirivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baleka ekkubo eggolokofu ne bakyama, nga bagoberera ekkubo lya Balamu omwana wa Beyoli, eyayagala empeera ey'obutali butuukirivu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baaleka ekkubo ettuufu, ne bawaba, ne bakwata ekkubo lya Balamu omwana wa Bewori, eyayagala okukola ekibi alyoke afune empeera,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abaleka ekkubo eggolokofu ne bakyama, nga bagoberera ekkubo lya Balamu omwana wa Beyoli, eyayagala empeera ey'obutali butuukirivu;