2 Peter 2:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso yakangavvulwa olw'ebisobyo bye; endogoyi etayogera yayogera mu ddoboozi ly'omuntu, n'ekoma ku ddalu ly'omulanzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka endogoyi etayogera, Katonda bwe yagyogeza n’emumanya olw’obujeemu bwe n’eziyiza eddalu lya nnabbi oyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye n'anenyezebwa olw'obujeemu bwe ye, endogoyi eteyogera bwe yayogera n'eddoboozi ly'omuntu yaziyiza eddalu lya nnabbi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kyokka n'anenyezebwa olw'ekibi kye, endogoyi eteyogera, bwe yayogera ng'omuntu, n'eziyiza eddalu ly'omulanzi oyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye n'anenyezebwa olw'obujeemu bwe ye: endogoyi eteyogera bwe yayogera n'eddoboozi ly'omuntu yaziyiza eddalu lya naabbi.