2 Peter 2:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abo nzizi omutali tuzzi; kalenge kibuyaga gw'akuŋŋunsa, abaterekeddwa ekizikiza ekikunivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu abo nzizi ezitaliimu mazzi. Bali ng’ebire ebitwalibwa embuyaga, era baterekeddwa ekifo eky’ekizikiza ekikutte be zigizigi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo ze nzizi ezitaliimu mazzi, era lwe lufu olutwalibwa n'embuyaga, abakuumirwa ekizikiza ekikutte zigizigi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu abo, bali ng'enzizi ezitaliimu mazzi, era ng'ebire ebitwalibwa embuyaga. Ekifo ekibakuumirwa, kya kizikiza ekikutte zzigizigi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo ze nzizi ezitaliimu mazzi, era lwe lufu olutwalibwa n'embuyaga, abakuumirwa ekizikiza ekikutte zigizigi.