2 Peter 2:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ebigambo byabwe omutali eby'okwewanika bakema abaakadduka ku abo abakyali mu nsobi, nga babaseemyaseemya n'amaddu ag'omubiri n'obugwenyufu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Boogera ebigambo eby’okwekuluntaza era ebitaliimu nsa. Mu kwegomba kw’omubiri ne mu bukaba bwabwe basendasenda abo abali okumpi n’okubadduka abakyatambulira mu kibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga, bwe boogera ebigambo ebikulu ennyo ebitaliimu, basendasenda mu kwegomba kw'omubiri, mu bukaba, abo abali okumpi n'okudduka abatambulira mu bukyamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Boogera ebigambo eby'okwekuza era ebitaliimu makulu, ne basendasenda mu kwegomba okubi okw'omubiri ne mu bukaba, abo abaakava mu bantu abali mu nsobi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga, bwe boogera ebigambo ebikulu ennyo ebitaliimu, basendasenda mu kwegomba kw'omubiri, mu bukaba, abo abali okumpi n'okubadduka abatambulira mu bukyamu;