2 Peter 2:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Babasuubiza eddembe, sso nga bo obugwenyufu bubeefuze. Anti oli ekintu bwe kimuwangula, afuuka muddu waakyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Babasuubiza eddembe, so nga bo bennyini baddu ba bikolwa ebibi eby’okuzikirira. Kubanga omuntu afuuka muddu w’ekyo ekimufuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Babasuubiza okuweebwa eddembe, nga bo bennyini baddu ba kuzikirira; kubanga ekyo ekiwangula omuntu abeera muddu waakyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Babasuubiza eddembe, sso nga bo bennyini empisa embi zibafuga buddu, kubanga omuntu aba muddu w'ekyo ekimuwangudde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga babasuubiza okuweebwa eddembe, nga bo bennyini baddu ba kuzikirira; kubanga omuntu bw'awangulibwa munne, era abeera muddu we.