2 Peter 2:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abo abadduka obwonoonefu bw'ensi oluvannyuma lw'okumanya Mukama waffe era Omulokozi Yezu Kristu, bumala bubazingako nate, ne bubawangula, embeera yaabwe ey'oluvannyuma efuuka mbi n'okukira eyasooka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era abantu bwe bategeera Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo, ne badduka okuva mu bintu ebyo eby’ensi ebyonoona era ebitwala abantu mu kuzikirira, ate ne bava awo ne babiddamu, bibasibira ddala era obulamu bwabwe bufuuka bubi nnyo okusinga bwe bwali okusooka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kuba bwe bamala okudduka okuva mu bugwagwa bw'ensi olw'okutegeerera ddala Mukama waffe era Omulokozi Yesu Kristo, naye ate ne beegombeza mu bwo omulundi ogwokubiri ne bawangulibwa, eby'oluvannyuma byabwe bisinga obubi eby'olubereberye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo abadduka obugwagwa bw'ensi, olw'okumanya Mukama waffe era Omulokozi Yesu Kristo, ate ne baddamu okubwesibamu ne bubawangula, embeera yaabwe ey'oluvannyuma, eba mbi okusinga eyasooka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kuba oba nga bwe bamala okudduka okuva mu bugwagwa bw'ensi mu kutegeerera ddala Mukama waffe era Omulokozi Yesu Kristo, naye ne beegombeza mu obwo omulundi ogw'okubiri ne bawangulibwa eby'oluvaanyuma byabwe bisinga obubi eby'olubereberye.