2 Peter 2:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekyandibasingidde bwe butamanya kkubo lya butuukirivu, okusinga okumala okulitegeera ate ne bakuba enkyukira, ne baleka ekiragiro ekitukuvu ekyabakwasibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekyandisinze be bantu abo obutategeerera ddala kkubo lya Mukama waffe ery’obutuukirivu, eriggya abantu mu kuzikirira, okusinga lwe bamala okulitegeera, ate ne bava ku biragiro ebitukuvu bye baaweebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga kyandibadde kirungi gyebali singa tebaategeera kkubo lya butuukirivu, okusinga, bwe bamala okulitegeera, ate ne badda emabega okuleka ekiragiro ekitukuvu kye baaweebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu abo, ekyandibasingidde obulungi, bwe butamanya kkubo lya butuukirivu, okusinga lwe bamala okulimanya ne balivaamu, era ne bava ku biragiro ebitukuvu ebyabaweebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga kyandibadde kirungi gye bali singa tebaategeera kkubo lya butuukirivu, okusinga, bwe bamala okulitegeera, okudda ennyuma okuleka ekiragiro ekitukuvu kye baaweebwa.