2 Peter 2:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abo olugero luno lubatuukirako bulungi, nti: “Embwa edda ku by'esesemye,” era nti n'embizzi oluginaaza, edda mu kwevulunga mu bitoomi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olugero olwagerebwa kyeluva lutuukirira ku bo olugamba nti, “Embwa eridde ebisesemye byayo,” na luno nti: “Embizzi eva okunaazibwa ezzeeyo okwekulukuunya mu bitosi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kibatuuseeko ng'olugero olw'amazima bwe luli nti, “Embwa eddidde ebisesemye byayo, n'embizzi enaazibbwa ezzeemu okwekulukuunya mu bitosi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyabatuukako kikakasa nti olugero lutuufu olugamba nti: “Embwa eddidde ebisesemye byayo.” Era nti: “Embizzi enaaziddwa, ezzeemu okwekulukuunya mu bitosi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyabatuukirira ng'olugero olw'amazima bwe luli, nti Embwa eddidde ebisesemye byayo, n'embizzi enaazibbwa eddidde okwekulukuuaya mu bitosi.