2 Peter 2:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kululunkana kwabwe balisala gonna okubagula n'ebigambo byabwe eby'obulimba; kyokka omusango gwabwe gwabasinga dda, n'okuzikirira kwabwe tekwebase.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
balibafunamu amagoba mangi nga bakozesa ebigambo eby’obulimba olw’omululu gwabwe. Abo Katonda yabasalira dda omusango era n’okuzikirizibwa kwabwe tekubuusibwabuusibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era olw'omululu balibafunamu amagoba nga bakozesa ebigambo ebyagunjibwa, omusango gw'abo okuva edda tegulwa, n'okuzikirira kwabwe tekubongoota.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olw'omululu gwabwe, balifuna amagoba mu mmwe, nga bakozesa ebigambo eby'obulimba. Omulamuzi yamala dda okwetegeka okubasalira omusango okubasinga era oyo ow'okubazikiriza, tasumagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era olw'okwegomba balibaviisaamu amagoba n'ebigambo ebyagunjibwa: omusango gw'abo okuva edda tegulwa, n'okuzikirira kwabwe tekubongoota.