2 Peter 2:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bamalayika bwe baayonoona, Katonda teyabasonyiwa; yabasulinka wansi eyo mu magombe, n'abasiba eyo mu nzikiza, bakuumirwe eyo okutuusa ku kulamulibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda teyasaasira bamalayika abaayonoona, wabula yabasuula mu lukonko oluwanvu olujjudde ekizikiza, gye bali, nga basibiddwa mu njegere nga balindirira olunaku olw’okusalirwako omusango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kuba oba nga Katonda teyasonyiwa bamalayika bwe baayonoona, naye n'abasuula mu lukonko n'abawaayo eri obunnya obw'ekizikiza, okubategekera omusango;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda teyasaasira bamalayika abaayonoona, wabula yabasuula mu lukonko emagombe, n'abasibira eyo mu kizikiza, okutuusa lwe balisalirwa omusango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kuba oba nga Katonda teyasonyiwa bamalayika bwe baayonoona, naye n'abasuula mu lukonko n'abawaayo eri obunnya obw'ekizikiza, okubakuumira omusango;