2 Peter 2:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ensi ey'edda teyagisonyiwa; yatalizaako Nowa yekka, omuyigiriza w'obutuukirivu, n'abantu abalala musanvu, bwe yaleeta omujjuzi ku nsi y'abatatya Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ensi ey’edda teyagisaasira, n’aleeta amataba ku nsi okuzikiriza abo abataamutya, n’alokolako Nuuwa eyabuulira obutuukirivu wamu n’abalala musanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era n'atasonyiwa nsi ey'edda, naye n'awonya Nuuwa, omubuulizi w'obutuukirivu, ne banne omusanvu bokka, bwe yaleeta amataba ku nsi ey'abatatya Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era teyasaasira nsi ey'edda, wabula yaleeta omujjuzo ku nsi y'abatamussaamu kitiibwa. Noowa eyakubirizanga abantu okuyisa obulungi, Katonda gwe yawonyaawo, n'abalala musanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era n'atasonyiwa nsi ey'edda, naye n'awonya Nuuwa, omubuulizi w'obutuukirivu, ne banne omusanvu bokka, bwe yaleeta amataba ku nsi ey'abatatya Katonda: