2 Peter 2:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebibuga Sodoma ne Gomorra yabifuula evvu, n'abisalira ogw'okusaanawo, bonna abatatya Katonda balyoke bategeererenga okwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era yasalira omusango abaali mu bibuga by’e Sodomu n’e Ggomola bwe yabazikiriza, ne bisirikka mu muliro, bw’atyo n’alaga ebyo ebigenda okutuuka ku buli atatya Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yasirissa ebibuga Sodomu ne Ggomola n'abisalira omusango ng'abizikiriza n'okubifuula ekyokulabirako eri abo abatalitya Katonda;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda yasalira ebibuga Sodoma ne Gomora omusango, n'abizikiriza n'omuliro, n'abifuula ekyokulabirako eri abo abatalimussaamu kitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era bwe yasirissa ebibuga Sodoma ne Ggomola n'abisalira omusango ng'abizikiriza ng'abifuula ekyokulabirako eri abo abatalitya Katonda;