2 Peter 2:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti omusajja oyo omutuukirivu, bwe yali mu bo, yakabirirwa buli lunaku mu mwoyo gwe omulungi olw'ebikolwa byabwe ebibi bye yalabanga ne bye yawuliranga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’okubanga yababeerangamu, buli lunaku, yalabanga era n’awuliranga ebikolwa eby’obujeemu bye baakolanga, ekyo ne kimuleetera okunyolwa mu mwoyo gwe omutuukirivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga omuntu oyo omutuukirivu, bwe yatuulanga mu bo bulijjo bulijjo yanyolwanga mu mwoyo gwe omutuukirivu olw'ebikolwa byabwe eby'obujeemu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu oyo eyali akola ebituufu, ebikolwa byabwe eby'obujeemu bye yalabanga ne bye yawuliranga ng'ali mu bo, buli lunaku byamuleeteranga okunyolwa mu mwoyo gwe omulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
(kubanga omuntu oyo omutuukirivu, bwe yatuulanga mu bo, olw'okulaba n'olw'okuwulira yanyolwanga mu mwoyo gwe omutuukirivu bulijjo bulijjo olw'ebikolwa byabwe eby'obujeemu):