2 Peter 2:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu abasomi Katonda amanyi okubaggya mu bizibu, abatali batuukirivu bo amanyi okubalindiriza ekibonerezo okutuusa ku lunaku olw'okulamulibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama amanyi okuwonya n’okuggya mu kugezesebwa abamutya, n’abonereza abatali bakkiriza okutuusa ku lunaku olw’okusalirako omusango,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama waffe amanyi okulokola abatya Katonda mu kukemebwa, n'okukuuma abatali batuukirivu nga babonerezebwa okutuusa ku lunaku olw'omusango;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama amanyi okuggya mu buzibu abo abassaamu Katonda ekitiibwa, n'okukuuma ababi okutuusa ku lunaku olw'okusalirwako omusango babonerezebwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama waffe amanyi okulokola abatya Katonda mu kukemebwa, n'okukuuma abatali batuukirivu nga babonerezebwa okutuusa ku lunaku olw'omusango;