2 Peter 3:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba byonna bino biriseebengerera, mmwe abantu nga kibagwanidde okuyisa obulamu obutukuvu, obw'ekisomi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale obanga ebintu byonna bya kuzikirizibwa, mugwanidde kubeeranga bantu ba mpisa ntukuvu era abatya Katonda,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebyo byonna oba bigenda okusaanuuka bwe bityo, mugwanidde kubeeranga mutya? Musaana okubeera mu mpisa entukuvu n'okutyanga Katonda,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oba ng'ebintu ebyo byonna bigenda kuzikirizibwa bwe bityo, mugwanidde kubeera mutya? Mu bulamu bwammwe mugwanidde kuba batukuvu era abassaamu Katonda ekitiibwa,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebyo byonna bwe bigenda okusaanuuka bwe bityo, mugwanidde kubeeranga mutya mu mpisa entukuvu n'okutyanga Katonda,