2 Peter 3:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga mulinda mutyo era nga bwe mwanguyaako okutuuka kw'olunaku lw'Omukama, eggulu lwe liryaka ne liseebengerera ne bye lyakolwamu lwe birisaanuuka olw'omuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga mulindirira era nga mwegomba nnyo olunaku lwa Katonda okutuuka, olunaku obwengula bwonna bwe buryokebwa ne buzikirizirwa n’ebiburimu ne bisaanuuka ne bisirikka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga mulindirira era nga mwegomba nnyo olunaku lwa Katonda okutuuka, olulisaanuusisa eggulu nga lyokebwa, n'ebintu ebiririko ne biseebengerera olw'ebbugumu eringi!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga mulindirira era nga mwegomba nnyo Olunaku Katonda lw'alisalirako omusango lutuuke. Ku lunaku olwo, eggulu lirikoleera omuliro ne liggya, n'ebiririko birisaanuusibwa omuliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga musuubira nga mwegomba nnyo olunaku lwa Katonda okutuuka, olulisaanuusisa eggulu nga lyokebwa, n'ebintu eby'obuwangwa ne biseebengerera olw'ebbugumu eringi?