2 Peter 3:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mukama waffe okugira ng'akyakwatiriddeko, mukitwale ng'omukisa gwammwe okulokoka. N'owooluganda omwagalwa Pawulo bw'atyo bwe yabawandiikira mu magezi ge yaweebwa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka mulowoozenga ku kubonyaabonyezebwa okw’obulokozi bwa Mukama waffe, nga ne muganda waffe omwagalwa Pawulo kye yabategeeza mu bbaluwa ze yabawandiikira mu magezi Katonda ge yamuwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era mulowoozenga ng'okugumiikiriza kwa Mukama waffe bwe bulokozi, era nga muganda waffe omwagalwa Pawulo mu magezi ge yaweebwa bwe yabawandiikira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mumanye nti okugumiikiriza kwa Mukama waffe, gwe mukisa gwammwe ogw'okulokolebwa. Ne muganda waffe omwagalwa Pawulo bw'atyo bwe yabawandiikira mu magezi Katonda ge yamuwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mulowoozenga ng'okugumiikiriza kwa Mukama waffe bwe bulokozi, era nga muganda waffe omwagalwa Pawulo mu magezi ge yaweebwa bwe yabawandiikira;