2 Peter 3:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ebyo n'abyogerako, era nga bw'abyogerako mu bbaluwa ze zonna. Mu bbaluwa ezo osangamu oluusi ebizibu okutegeera, abatali bayigirize n'abatali banywevu bye batabulatabula ne beereetera okuzikirira, nga bwe bakola Ebiwandiiko ebirala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Weewaawo ebbaluwa ze zirimu bingi ebizibu okutegeera, kyokka buli lw’awandiika aba ayogera ku nsonga ezo; wabula bo abatamanyi era abatali banywevu babinnyonnyola nga bwe bannyonnyola ebyawandiikibwa ebirala ne beereetako okuzikirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebyo abyogerako mu bbaluwa ze zonna. Mulimu ebintu ebimu mu zo; ebizibu okutegeera, abatamanyi n'abatali banywevu bye banyoola, era nga bwe bakola n'ebyawandiikibwa ebirala, ekireeta okuzikirira kwabwe bo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo abyogerako mu bbaluwa ze zonna. Mu zo mulimu ebimu ebizibu okutegeera, abantu abatamanyi n'abatali banywevu, bye bakyamya, nga bwe bakola ne ku byawandiikibwa ebirala, ne kibaviiramu okuzikirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era nga mu bbaluwa ze zonna, ng'ayogera ku ebyo mu zo; omuli ebimu ebizibu okutegeera, abatamanyi n'abatali banywevu bye banyoola, era nga n'ebyawandiikibwa ebirala, olw'okuzikirira kwabwe bo.