2 Peter 3:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno, mmwe abaagalwa, mutegedde nga bukyali; mwerinde, muleme kutwalirizibwa bukyamu bw'abantu omutali mpisa ne muva awammwe we munyweredde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale, mmwe abaagalwa, ebyo nga bwe mubitegedde, mwekuume muleme kukyamizibwa abantu abo abajeemu, si kulwa nga babaleetera okugwa ne muva we munyweredde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, abaagalwa, kubanga musoose okutegeera, mwekuumenga muleme okugwa okuva mu bunywevu bwammwe mmwe nga mutwalibwa obukyamu bw'ababi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno mmwe abaagalwa, nga ebyo bwe mubitegedde nga bukyali, mwerinde muleme kubuzibwabuzibwa bukyamu bw'ababi, ne muva we munyweredde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, abaagalwa, kubanga musoose okutegeera, mwekuumanga muleme okugwa okuva mu bunywevu bwammwe mmwe nga mutwalibwa obukyamu bw'ababi.