2 Peter 3:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nti mwandijjukidde ebyo ebyayogerwa edda abalanzi abatuukirivu, n'ebiragiro by'Omukama era Omulokozi Abatume bammwe bye baabawa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mujjukire ebyo ebyayogerwa bannabbi abatukuvu n’ekiragiro kya Mukama waffe era Omulokozi waffe ekyaweebwa abatume bammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
okujjukiranga ebigambo ebyayogerwa edda bannabbi abatukuvu, n'ekiragiro ky'abatume bammwe ekya Mukama waffe era Omulokozi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
mulyoke mujjukire ebigambo ebyayogerwa edda abalanzi abatukuvu, n'ebiragiro bya Mukama era Omulokozi, ebyabaweebwa abatume bammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okujjukiranga ebigambo ebyayogerwa edda bannabbi abatukuvu, n'ekiragiro ky'abatume bammwe ekya Mukama waffe era Omulokozi: