2 Peter 3:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekisookera ddala, mutegeere nga mu nnaku ez'oluvannyuma walijjayo abaduuze, abajjirira okuduula, abagoberera amaddu gaabwe gokka,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekisooka, mutegeerere ddala nga mu nnaku ez’oluvannyuma abantu abagoberera okwegomba kw’omubiri gwabwe balijja mu mmwe nga babasekerera,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okusookera ddala, musaana okutegeera kino, nga mu nnaku ez'oluvannyuma abasekerezi balijja n'okusekerera, nga batambula okugobereranga okwegomba kwabwe bo
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okusookera ddala, mumanye kino nti mu nnaku ez'oluvannyuma, walibaawo abantu abagoberera okwegomba kwabwe okubi. Abantu abo balibasekerera mmwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga mumaze okusooka okutegeera kino, nga mu nnaku ez'oluvannyuma abasekerezi balijja n'okusekerera, nga batambula okugobereranga okwegomba kwabwe bo