2 Peter 3:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga bagamba nti: “Bye yasuubiza nti ajja biruwa? Bajjajja kasooka bagalamira byonna bikyali nga bwe byali ku masooka g'okutondebwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga bwe bagamba nti, “Eyasuubiza nti alijja, aluwa? Kubanga kasookedde bajjajjaffe bafa, ebintu byonna biri nga bwe byabanga okuva ensi lwe yatondebwa!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne boogera nti, “Okusuubiza kw'okujja kwe kuli luuyi wa? Kubanga, bajjajjaffe kasookedde beebaka, byonna bibeera bwe bityo nga bwe byabanga okuva ku kutondebwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga bagamba nti: “Eyasuubiza nti alijja aluwa? Kasookedde bajjajjaffe bafa, ebintu byonna bikyali nga bwe byali okuviira ddala ku kutondebwa kw'ensi!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne boogera nti Okusuubiza kw'okujja kwe kuli luuyi wa? Kubanga, bajjajjaffe kasookedde beebaka, byonna bibeera bwe bityo nga bwe byabanga okuva ku kutondebwa.