2 Peter 3:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu bugenderevu beerabira nti eggulu lyabaawo dda Katonda lwe yayogera ekigambo, n'ensi n'ekolebwa n'amazzi ng'eggyibwa mu mazzi;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Beefuula abatamanyi nti edda Katonda yalagira bulagizi, era olw’ekigambo eggulu n’ensi ne bitondebwa. Olw’ekigambo kya Katonda ensi yatondebwa ng’eggyibwa mu mazzi era n’ebeera wakati w’amazzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bagenderera okwerabira kino nga olw'ekigambo kya Katonda, eggulu lyaliwo dda, era n'ensi n'etondebwa okuva mu mazzi era n'ebeera wakati mu mazzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kino bakyeyisaako bweyisa. Bamanyi nti edda Katonda yayogera bwogezi, eggulu n'ensi ne bitondebwa, ensi n'ekolebwa ng'eggyibwa mu mazzi, era n'eteekebwa wakati waago.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga beerabira kino nga balaba, ng'edda waaliwo eggulu, n'ensi eyava mu mazzi era yali wakati mu mazzi, olw'ekigambo kya Katonda,