2 Peter 3:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ekigambo ekyo kyennyini, eggulu n'ensi ebiriwo kati byazzibwawo ne kibikuuma okutuusa lwe biryokebwa omuliro ku lunaku olw'okulamulibwa n'okuzikirira kw'abantu abatatya Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era olw’ekigambo ekyo, eggulu n’ensi ebiriwo kaakano bikuumibwa nga birindiridde okwokebwa omuliro ku lunaku olw’okusalirako omusango, n’okuzikirizibwa kw’abo abatatya Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye olw'ekigambo ekyo kye kimu eggulu n'ensi ebiriwo kaakano biterekeddwa omuliro, nga bikuumibwa okutuusa ku lunaku olw'omusango n'okuzikirira kw'abantu abatatya Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekigambo kya Katonda ekyo kyennyini, kye kibeesaawo eggulu n'ensi ebiriwo kaakano, ne kibikuuma okutuusa lwe biryokebwa omuliro ku lunaku olw'okusalirako omusango, n'okuzikirira kw'abantu abatassaamu Katonda kitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye eggulu erya kaakano n'ensi olw'ekigambo ekyo biterekeddwa omuliro, nga bikuumibwa okutuusa ku lunaku olw'omusango n'okuzikirira kw'abantu abatatya Katonda.