2 Peter 3:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaagalwa, waliwo ekigambo kiikino kimu kye mutasaanye kwerabira, nti ew'Omukama olunaku olumu luli ng'emyaka olukumi, n'emyaka olukumi giri ng'olunaku olumu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye, abooluganda, temusaana, kwerabira nti mu maaso ga Mukama emyaka olukumi giri ng’olunaku olumu, era n’olunaku olumu luli ng’emyaka olukumi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kino kimu temukyerabiranga, abaagalwa, nga eri Mukama waffe olunaku olumu luli ng'emyaka olukumi (1,000), n'emyaka olukumi (1,000) giri ng'olunaku olumu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaagalwa, kino temukyerabiranga nti eri Mukama, olunaku olumu kye kimu n'emyaka olukumi, n'emyaka olukumi kye kimu n'olunaku olumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye kino kimu temukyerabiranga, abaagalwa, nga eri Mukama waffe olunaku olumu luli ng'emyaka olukumi, n'emyaka olukumi giri ng'olunaku olumu.