2 Peter 3:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama bw'asuubiza, talwa kutuukiriza ky'asuubizza, ng'abamu bwe bamuvunaana nti aludde. Wabula akyakwatiriddeko olw'okubeera mmwe nga tayagala wabeerewo bazikirira, wabula nti bonna batuuke ku kwenenya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama waffe taludde kutuukiriza ekyo kye yasuubiza ng’abamu bwe balowooza. Wabula ye akyabagumiikiriza, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna beenenye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama waffe talwisa kye yasuubiza, ng'abalala bwe balowooza okulwa; naye agumiikiriza gye muli, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna batuuke ku kwenenya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama talwawo kutuukiriza kye yasuubiza ng'abamu bwe balowooza, kyokka abagumiikiriza mmwe, nga tayagala wabeewo azikirira, wabula bonna beenenye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama waffe talwisa kye yasuubiza, ng'abalala bwe balowooza okulwa; naye agumiikiriza gye muli, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna batuuke okwenenya.