2 Samuel 1:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kwe kuyimirira we yali ne mmutta, kubanga nali ndabye nti oluvannyuma lw'okugwa yali takyasobola kulama. Ne nzirira engule eyali ku mutwe gwe, n'akakomo akaali ku mukono gwe ne mbikuleetera wano mukama wange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kyennava muyimirirako ne mutta, kubanga n’ategeera nga takyalamye. Ne ntwala engule eyali ku mutwe gwe n’ekikomo ekyali ku mukono gwe, era biibino mbireetedde mukama wange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne nnyimirira ku mabbali ge, ne mmutta, kubanga nategeerera ddala nga tayinza kuba mulamu nga amaze okugwa; ne muggyako engule eyali ku mutwe gwe, n'ekikomo ekyali ku mukono gwe, era mbikuletedde mukama wange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne ŋŋenda w'ali ne mmutta, kubanga nategeeredde ddala nti bw'anaagwa taaleme kufa. Ne mmuggyako engule ku mutwe n'ekikomo ku mukono, era ssebo biibino mbireese gy'oli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne nnyimirira ku mabbali ge, ne mmutta, kubanga nategeerera ddala nga tayinza kuba mulamu ng'amaze okugwa: ne ntwala engule eyali ku mutwe gwe n'ekikomo ekyali ku mukono gwe, era mbireese wano eri mukama wange.