2 Samuel 1:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne bakungubaga, ne bakaaba, ne basiiba okutuusa akawungeezi olw'okubeera Sawulo ne Yonatani mutabani we, n'olw'okubeera eggye ly'Omukama n'ennyumba ya Yisirayeli, kubanga baali battiddwa ekitala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bakaaba, ne bakungubaga ne basiiba okutuusa akawungeezi ku lwa Sawulo ne Yonasaani mutabani we; ne ku lw’eggye lya Mukama, ne ku lw’ennyumba ya Isirayiri; kubanga bonna baali bafudde n’ekitala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bawuubaala ne bakaaba amaziga ne basiiba ne bazibya obudde, olwa Sawulo n'olwa Yonasaani mutabani we n'olw'abantu ba Mukama n'olw'ennyumba ya Isiraeri; kubanga battiddwa n'ekitala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bakungubaga, ne bakaaba amaziga, ne batalya mmere olunaku lwonna, olw'okubeera Sawulo ne mutabani we Yonataani, n'olw'abantu ba Mukama Abayisirayeli kubanga battibwa mu lutalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bawuubaala ne bakaaba amaziga ne basiiba ne bazibya obudde, olwa Sawulo n'olwa Yonasaani mutabani we n'olw'abantu ba Mukama n'olw'ennyumba ya Isiraeri; kubanga bagudde n'ekitala.