2 Samuel 1:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'abuuza omulenzi eyali amubuulidde nti: “Ova wa?” N'ayanukula nti: “Ndi mutabani wa musajja omugwira Omwamaleki.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’agamba omuvubuka eyamutegeeza amawulire ago nti, “Ova wa?” N’addamu nti, “Ndi mwana wa munnaggwanga, Omwameleki.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'abuuza omulenzi eyamubuulira nti, “Oli wa wa?” N'addamu nti, “Ndi mwana wa munnaggwanga, Omwamaleki.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'abuuza omuvubuka eyamuleetera amawulire ago nti: “Ggwe oli wa wa?” N'amuddamu nti: “Ndi mwana wa Mwamaleki omutuuze.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'agamba omulenzi eyamubuulira nti Oli wa wa? N'addamu nti Ndi mwana wa munnaggwanga, Omwamaleki.