2 Samuel 1:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'amugamba nti: “Omusaayi gwo gubeere ku mutwe gwo, kubanga akamwa ko ke kakulumirizza bw'ogambye nti: ‘Nze natta omusiige w'Omukama.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’amugamba nti, “Omusaayi gwo gubeere ku mutwe gwo, kubanga akamwa ko ye mujulirwa ng’oyogera nti, ‘Nnatta oyo Mukama gwe yafukako amafuta.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'amugamba nti, “Omusaayi gwo gubeere ku mutwe gwo; akamwa ko ye mujulirwa kubanga oyogedde nti, ‘Nzise oyo Mukama gwe yafukako amafuta.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'agamba Omwamaleki nti: “Kino ggwe okyereetedde, era weesalidde wekka omusango ng'ogamba nti: ‘Nze nzise oyo Mukama gwe yafukako omuzigo.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'amugamba nti Omusaayi gwo gubeere ku mutwe gwo; kubanga akamwa ko ye mujulirwa gy'oli ng'oyogera nti Nzise oyo Mukama gwe yafukako amafuta.