2 Samuel 1:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yalagira abantu ba Yuda bayigirizibwe oluyimba luno olw'omutego gw'akasaale; lwawandiikibwa mu Kitabo kya Yasari. Yagamba nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’alagira abantu ba Isirayiri bayigirizibwe oluyimba olw’omutego olw’okukungubaga olwawandiikibwa mu kitabo kya Yasali. Olugamba nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'alagira okuyigiriza abaana ba Yuda oluyimba olw'omutego; laba, lwawandiikibwa mu Kitabo kya Yasali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'alagira oluyimba olwo oluyitibwa Omutego luyigirizibwe abantu b'omu Buyudaaya, era luwandiikiddwa mu kitabo kya Yasari.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'alagira okuyigiriza abaana ba Yuda (oluyimba) olw'omutego: laba, lwawandiikibwa mu kitabo kya Yasali.